William Ruto agobye olukiiko lwa baminisita oba Cabinet minisita’s bonna
Omukulembeze w’e ggwanga li Kenya William Ruto agobye olukiiko lwa baminisita oba Cabinet minisita’s bonna, ng’omu ku kaweefube w’okukakkanya abavubuka abagufudde omuzze okusiibanga ku nguudo nga bekakalakaasa.
Ruto agambye nti wakwongera okukola enkyukakyuka mu gavumenti gyadukanya okulaba nga asala ku nsasaanya.
Mu kaseera kano agambye nti ategeka kutuuka na bavubuka, kko nabalala abafaayo ku bulungi bwa kenya bateese ku gavumenti empya , kko nengeri yokumalawo ebbanja eritawanya Kenya.