UMEME badduukiridde ab'omuzigotta :Babawadde waya omutayita masanyalaze
Ekitongole ki UMEME kivuddeyo nenteekateeka y'okugabira abantu mu bitundu eby'enzigotya waya ezaanikibwako engoye. Kino kikoleddwa okutaasa abantu abazenga bakubibwa amasannyalaze olw’okwanika engoye ku waya z’amasanyalaze. Enteekateeka eno etongozeddwa e Bwayise mu Kawempe.