TWAGALA SSENTE ZAFFE: Ababbiddwa ssente e Bwayise bakyakalambidde
Ababiddwa ensimbi zaabwe mu Sacco ya UG SAVE MICRO FUND e Bwayise mu Kawempe basabye gav’t ebayambe basobole okufuna ensimbi zaabwe. Bano twabakulaze olunaku lweggulo nga bakonkomalidde ku poliisi e Kawempe olwa Sacco okudduka n’ensimbi zaabwe zebatalekedde okumala ebbanga lya mwaka mulamba.