TWAGALA KWONGEZEBWA MUSALA : Abanoga amaajani e Kikuube baddukidde ewa RDC
Abakulembeze mu disitulikiti y’e Kikuube nga bakulembeddwami omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno Amlan Tumusiime bayingidde mu nsonga z’abakozi ba kampuni y’amajaani eya Bugembe Tea Estate. Bano babadde mu kwekalakaasa olwa kampuni eno okugaana okubongeza omusaala – batubuulidde nga bulijjo bwebabasuubiza okubongeza omusaala naye nga tebakituukiriza.