Tubawadde omwezi gumu: Ab'e Katabi Ntebe bakkiriza KCCA okutwala kasasiro ewaabwe
Kyadaaki aba katabi tawuni kanso bakkiriza KCCA okuyiwa kasasiro mu kitundu kyabwe okumala ebbanga lya mwezi gumu gwokka.Kino kidiridde abakulembeze mu KCCA nga bakulembeddwamu Loodi meeya Erias Lukwago okwesitula nebalumba banaabwe ab’e Katabi okubeegayirira okugira nga bayiwako ewebwe kasasiro nga bwebasala amagezi.Mu kukkirizibwa bano bateereddwako obukwakulizo omuli n’okukyusa ekkubo mwebagenda okuyitanga kko n’okuyiwa amazzi buli kiseera olw’enfuufu emptirivu gyebagenda okuyita.Loodi meeya Erias Lukwago ne banne beetondedde bakulembeze banaabwe ab’e Katabi okuyiwa kasasiro ewabwe nga tebasoose kuyita mu mitendera emituufu.