Kkampeyini ez’awamu, bannakibiina abamu bagamba tebaategana kuwenja kalulu
Abamu ku bavuganya mu kibiina ki NRM bagamba nti baasalawo obutenyigira mu kuwenja akalulu okw’awamu oba Joint campaigns, oluvanyuma lw’okukizuula nti bannabwe baalina ebigendererwa ebirala eby’okubalemsa okunoonya obuwagizi sako n’okuba nti kizibu okunoonyeza akalulu awamu mu bawagizi abatasobola kutegeera byabufuzi eby’ekisajja kikulu.Olwaleero twogeddeko n’abantu abenjawulo okumanya okuwenja akalulu ak’awamu bwe kabadde nga ekibiina ki NRM kyetegekera okulonda mu kamyuufu kaakyo olunaku olwokuna n'engeri gye bakasuubira okutambulamu