Ogw’okwezibika ssente za Kanyeihamba, Obam azziddwayo e Luzira
Munnamateeka Andrew Obam avunaanibwa omusango gw’okwezibika ssente zeeyali omulamuzi wa kkooti ensukkulumu kati omugenzi George Kanyeihamba azziddwayo ku alimanda e Luzira. Omusango guno gwamusomerwa wiiki ewedde mu kkooti ewozesa egy’obukenuzi ng’emulanga kwezibika Doola za Amerika emitwalo etaano mu kakaaga mu lunaana okuva ku akawunta y’omulamuzi ono esangibwa mu Bank of Africa.