Ekita ekitava ku ssengejjero , Crispus Kiyonga naye yazzeemu okwesowolayo
Dr .Crispus Walter Kiyonga y’omu ku bannabyabufuzi ab’ebyafaayo mu ggwanga Uganda ng’ono yeeyeka eyawangula ekifo ng’omubaka wa palamemti ku kaadi y’ekibiina ki UPM mu kulonda kwa 1986.Omwami ono nga kakano ye ssenkulu wa Makerere Universty abadde yawummula eby’obufuzi,kyoka yasazeewo okuddamu avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukonzo West ekyamutwalwako munne Godfrey Atkins Katusabe mu kulonda kwa 2016.Samuel Ssebuliba atunuulidde obuweereza bwa Kiyonga okuva mu mwaka 1980 lweyasooka okufuuka omubaka nga kyajje aweze emyaka 28 egy’obukulu.