Waliwo ebikyuse mu visa ya Amerika, obugenyi ssi bwakusussa myezi esatu
Abakulu mu ggwanga li America bakendezeza ku bbanga omugwira lyayinza okumala ng’akyaddeko mu ggwanga lino okuva ku myaka ebiri okudda ku myezi esatu gyokka. Omubaka wa America mu uganda William Popp agambye nti kino kyekimu ku biragiro ebiggya omukulembeze waabwe Donald Trump byeyakafulumya,kyoka ng’ekigendererwa kunyweza bya kwerinda bya ggwanga lyabwe.