Ttiyagaasi yakutuddeko omuyizi engalo oluvanyuma lwokusanga akakebe mu kisulo kye Makerere
Abayizi ku Ssettendekero wa Makerere bali mu kiyongobero oluvannyuma lwamunnaabwe okukubwa akakebe ka ttiyagaasi nekamukutulako engalo.
Ono akakebe ka ttiyagaasi yakasanze mu mu kisulo kya Lumumba, kwekusalawo akakasuke nga alowooza yafuumuuse kwekumubwatukira mu ngalo.