TETUGENDA KUKILIZA BALYAKE: Kasaija alabudde abaanagyayo eza parish model
Minisita w’eby’ensimbi Matia Kasaija agamba baakuluma n’ogw’engulu okulaba nga ensimbi z’enteekateeka ya Parish Development Model tezibibwa balyake.
Okwogera bino abadde asisinkanye abakulembeze ab’enono ne bannadiini e Hoima okubasomesa ku nteekateeka eno nabo basobole okubituusa mu bantu baabwe.
Ono agamba enteekateeka y’emyoga ebadde egasizza bannayuganda naye eyambye abantu baalubatu nga kati baagala buli muntu aganyulwe y’ensonga eyabaleesa eya Parish Development Model