Poliisi erinnye eggere mu lukungana lw'ekitongole ki KCCA
Poliisi erinnye eggere mu lukungana lw'ekitongole ki KCCA lwekibadde kitegese okusisinkana aba boda boda okuteesa ku tteeka lyebali mu kubaga ery’okulung’amya omulimu gwabwe. Wetutuukiddeyo nga eby’okwerinda binywezeddwa munda ne wabulu okulemesa olukungaana luno okugenda mu maaso. Poliisi egamba nti okuyimiriza olukung’aana luno kigendereddwamu kwetangira kirwadde kya Ebola ekitadde eggwanga ku bunkenke. Bbo abakulembeze ba KCCA balumiriza amyuka Nankulu wa KCCA David Luyimbaazi okuba emabega w'ekikolwa kino.