Omuvuzi wa boda boda yatiddwa mu bukambwe e Gombe
Abatuuze ku kyalo Ttikalu mu gombolola y’e Gombe e Nansana baguddemu enkyukwe, okusanga omuvuzi wa boda boda nga yatiddwa mu bukambwe. Omuvubuka ono atannategerekeka bimukwatako asangiddwa asaliddwako omutwe nga kiteeberezebwa abamusse bandiba nga baatutte pikipiki ye kweyabadde.