Omusango oguvunaanibwa banna FDC: Ab'oludda oluwabi tebalabiseeko
Bannamateeka ba banna FDC 36 abaakwatibwa mu gwanga ly’e Kenya bategeezeza nga bwebagenda okuddukira mu kooit etaputa ssemateeka okusaayo okwemulugunya kwabwe ku musango gw’obutujju ogwaggulwa ku bantu baabwe. Kidiridde oludda oluwaabi okuzimula ebiragiro ebyayisibwa kkooti kati enfunda 2 nambirira. Kubino kwaliko okuleeta empapula eziraga abavunaanwa engeri gyebafunamu obujjanjabi, okudiza ab’enganda zaabwe ebintu ebyabajjibwako ebitagenda kukozesebwa nga bujjulizi n’ebirala kyoka nga byona tebituukirizibwanga. Olwaleero bano bakomezeddwawo mu kkooti kyoka ab’oludda oluwaabi tebalabiseeko.