OMUSAJJA EYATEMYE ABANTU E KYENGERA : Ab'oluganda bagamba alina kizibu ky'obwongo
Olunaku lweggulo, lwabadde lwa nsasagge ku kyalo Kyengera omuvubuka bweyaguddemu akalogojjo, nadda ku bantu naatemaatema, ekyaviiriddeko abamu okufa n’abalala okugendera ku bisago. Olwekikolwa kino ekyabadde eky’entiisa, twagadde okumanya ekyaviiridde omuvubuka no okukola kino, era tulambudde ku b’enganda ze abatubuulidde aga bwebalina ekizibu ky’obwongo.