Omukuumi w'ekyalo e Mityana asangiddwa afudde
Abatuuze b’e Buswabulongo e Mityana baguddemu ensisi oluvannyuma lw’okusanga omukuumi w’okukyalo kyabwe nga afudde. Omulambo gw’omugenzi gulabiddwa abasuubuzi ababadde bakedde okuggulawo amaduuka gaabwe. Omulambo gwe gusangiddwa gugalamidde kulubalaza lw’ekizimbe lw’amaduuka g’akuuma, poliisi oluvanyuma lw’okekebejja omulambo gutwaliddwa mu gwanika e Mitayana.