Omubuvuka ateeberezebwa okuba omubbi atiddwa e Lungujja
Abatuuze b'e Bulange B e Lungujja mu division Lubaga baliko omubuvuka ateeberezebwa okuba omubbi gwebakakkanyeko nebamukuba okutuusa lwebamumizizza omussu. Kigambibwa nti ono yabadde nebanne abalala abaasobodde okudduka bwebabaabadde batigomya abatuuze mu kiro nga bakutte ebijambiya. Omulambo poliisi egututte mu ggwanika e Mulago.