OKWETEGEKERA OLUSOMA OLUJJA: Abakulembeze ba PPEIAU batandise okutalaaga eggwanga
Abakulira abatandisi b'amasomero mu Uganda bantandise okutalaaga ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo, okuteekateeka bannaabwe, olusoma olujja lugende okutuuka nga tewali kyekwaso kyonna.
Bano nga beegattira mu kibiina ki Proprietors of Private Educational Institutions Association in Uganda, batandikidde Masaka, okulaba nga abatandisi b’amasomero mu kitundu kino, batandika okulowooza ku lisoma olujja, nabiki ebyetaagisa. Ekisinze obukulu babakubirizza okwegemesa, n’okulaba nga buli musomesa n’omuyizi ku masomero bagemebwa.