OKWEKALAKAASA KW'ABASOMESA: Bakomye kw'erima, teri kusomesa
Abakulu b’amasomero ag’enjawulo olw’okuba nabo basomesa ba Arts abali mu kendiimo ekya kubalagira okugaggula kumpaka bakiraba nga kutiisatiisa - bagamba bagaggule baani abanaasomesa abaana.
Tutuseeko mu masomero agamu nga gakyali maggale ate amalala nga abayizi bali mukuzanya olw’okwekalakaasa kw’abasomesa okugenda mu maaso.