OKUYONJA EKIBUGA: Abatunda amasimu ku paaka empya tebasimattuse
KCCA akawungeezi k’olwaleero ekakkanye ku buyumba obubadde ku paaka empya obutundirwamu amasimu bwonna nebabumenya.
Obwe poliisi weeri okukakasa nti tewali alemesa nteekateeka eno kugenda mu maaso.
Abasuubuzi ababadde babukoleramu bakukkulumidde ekitongole ki KCCA wakati mu kwewozaako nga bbo bwebatali batembeeyi.