OKUTANGIRA EBOLA NE COVID 19 E MASAKA : Bannakyewa batandise okubangula abaliko obulemu
Abaliko obulemu nga bawangaala n’akawuka ka Mukenenya e Masaka basabye minisitule y’e by’obulamu obutabasuula muguluka singa wabaawo endwadde enkambwe ezibaluseewo.
Okwogera bino babade bakungaanye okusomesebwa ku ndwadde eziriwo gamba nga COVID -19, ne Ebola kakano ezifunze ekyonga.
Bakaanyiza okuttukiza kaweefube w’okukubiriza baliko obulemu okugenda okwegemesa COVID-19.