Okusalawo kwa Pulezidenti ku EFRIS: Abasuubuzi bagamba tebajja kukoowa kuteesa
Ebibiina ebitaaba abasubuuzi okuli Kampala City Traders Association,Federation of Uganda Traders ne Kampala Arcaders Traders Association bagamba nti tebagenda kukoowa kwongerezeganya na mukulembeze wa Ggwanga okutuusa nga ensonga zabwe ku nkola ya EFRIS zikoledwako.
Okwogera bino kiddiridde ensisinkano wakati w’omukulembeze w’e ggwanga n’abasuubuzi olunaku lw’eggulo ku nsonga eno,kyoka pulezidenti nakalambira ku ky’okugiyimiriza.
Bagamba nti bakusisinkana abasuubuzi bonna mu ggwanga bakaanye ku kye bagwana okuzaako.