ENKALU KU TTAKA E HOIMA: Waliwo musajja mukulu eyeekubidde enduulu
Waliwo musajja mukulu ayitibwa Simon Mugenyi Rweze okuva e Hoima eyeekubidde enduulu olw'abantu banenengana nabo ku ttaka okumwonoonera ebintu okuli nnennyumba ye ate ng'ensonga ezokugonjoola embiranye ku ttaka lino ziri mu kkooti. Ettaka eririko embiranye liri ku Bulooka 5 poloti 14, 15 ne 16 nga luweza yiika 1500 ku kyalo Bughaya.Ono ayagala ssaabaminisita Robinah Nabbanja amujune .