Okulwanyisa obulyake e Mubende; akulira ebyobulamu nabalala bakwatidwa
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi okuva mumaka g’omukulembeze w’egwanga kaliko abakulu basatu ku district ye Mubende bekakutte lwakwesulirayo gwa nnaggamba kumulimu gw’okuzimba ekifo abakyala we bazaliira ku ddwaliro lya Kibalinga Health Centre III. Abakwaate kuliko akulira eby’obulamu mu district John Ssendikaddiwa , Yinginiya wa district John Baptist Muzibira ne John Kamya Balungi akola ku by’okuzimba. Abakwate baggudwako gwa emisango ebiri okuli okukozesa obubi yafeesi yabwe n’okwesulirayo ogwanagamba ku mirimu.