OKULWANYISA EKIBBA DDAGALA : Amyuka RDC e Busia azinze eddwaliro lya Busia HC II
Mu ngeri y’okutangira obubbi bw’eddagala mu malwaliro ga gav’t e Busia, amyuka RDC w’e Busia atabukidde abasawo ku ddwaliro lya Busia Health Centre III.
Kino kidiridde ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala ki National Drug Authority okuleeta eddagala ku ddwaliro nebatategeeza wofiisi ya RDC nga bwebaali bakkiriziganya.