OKULWANAGANA E WAKISO : Abakansala ba town kanso bavudde mu mbeera
Ba kansala ba tawuni Kanso y’e Wakiso basikang’anye ebitoji ne poliisi nga egezaako okutaasa akulira abakozi mu town kanso eno gwebababdde beesomye okusibira mu wofiisi yye. Bano baali baawera obutadda mu kanso eno okutuusa nga byebasooka okutesaako bikolweddwako.