OKULONDOOLA ENSIMBI Z'OMUWI W'OMUSOLO MU KCCA : Ab'akakiiko ka COSASE balambudde pulojekiti za KCCCA
Akakiiko ka palamenti akalondoola enzirukanya y’emirimu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE kasiibye kalambula enzirukanya y’emirimu mu kitongole ki KCCA.
Ababaka bazudde ebirumira mu nzirukanya y’emirimu, omuli ebizimbe ebitwaliddwa bannakigwanyizi, okudibuuda ensimbi mu kugula ettaka kko n’ebirara
Kuno kwekumu ku kunonyereza ku KCCA akakiiko kwekaatandika okuzuula okudibuuda kw’e nsimbi z’omuwi w’omusolo okugambibwa nti kufumbekedda mu kitongole kino.