OKULONDA SSENTEBE W'E NAMAYUMBA : Kuddiddwamu, abantu tebaakujjumbidde
Olwaleero akalulu ka Ssentebe w’eggombolola y’e Namayumba kalondeddwa oluvanyuma lw’okusazibwamu olunaku lw’eggulo. Okusazibwamu kyadiridde munna NUP okuteekebwako NRM ekyaviiriddeko abanna NUP okugaana okulonda. Wabula okulonda kuno kubadde kwakimpoowoze olwaleero oluvanyuma lw’abantu okugwamu amaanyi olunaku lw’eggulo - okusinziira ku kakiiko k’eby’okulonda okulonda kuno kutambudde bulungi.