OKULINYA KW'EBBEEYI Y'AMAFUTA: Aba NUP bagamba bulagajjavu bwa gavumenti
Ekibiina ki National unity Platform kinenyeza gavumentii olw’emiwendo gy’amafuta egirinya buli lukya.
Bagamba nti gavumenti ng’eyita mu bitongole byayo ebitekeratekera e Ggwanga bandibadde ekizibu kino baakisalira dda amagezi ng’ekizimba tekinsamba dagalala.
Wetwogerera ng’amasundiro g’amafuta mangi gaggadeewo lw’abutaba na mafuta , songa amatono agakyalina gagatunda busanga.