OKULANYISA OKUKEKYULA ABAKYALA: Minisita agamba bakwataganye na mawanga ga E. Africa
Kizuuliddwa nga abaana ab’obuwala bangi bakyakomolebwa mu bitundu byabwe eby’ekyama mu bitundu bya Sebei.
Oluvanyuma lw’okuwerwa mu ggwanga bazadde b’abaana bano babatwala mu mawanga ag’okumuliraano nebabatusaako ekikolwa kino ebikambwe.
Kati gav’t egamba yaakuluma n’ogwengulu okulaba nga ekikolwa kino kikomezebwa – bino byogeddwa minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu Peace Mutuuzo.