Okukuuma omutindo gw'omusomesa; abakugu waliwo byebawagidde
Olunaku olw’eggulo ekibiina ekitaba abasomesa ki UNATU kyalabudde ssentebe wa disitulikti ye Nakaseke Iginitious Koomu , nga kimulanga kukaka basomesa mu district eno okutuula ebibuuzo ,yetegereze oba bakyalina obusobozi obuyisa abayizi ku mutendera gwa PLE. kati leero omusasi waffe Prisca Namulema ayogeddeko ne bannabyanjigiriza okumanya omusomesa by’agwana okukola okusobola okwekuumira ku mutindo.