Okugonza mu by'enzijanjaba: abakugu batandise okweyambisa ebyuma bi kalimagezi
Abakugu mu bya tekinologiya babakanye ne kaweefube w’okugonza enzijanjaba mu Uganda nga bagunjaawo ebyuma bikalimagezi ebiyinza okweyambisa entegeera nga ey’abantu okuwabula kko n’okulola ku mitendera omuntu gy’ayitamu okufuna obujanjabi.
Abakulembeddemu enkola eno aba kampuni ya Smart Applications bagamba nti batunuulidde akaseera nga omuntu asobola okwogeraganya ne byuma ne bumuwabula kku byobujanjabi oba endwadde emuluma, songa abayita mu yinsuwa nga tebalwisibwa mu mitendera.
Kyoka baagala nti enkola eya Artifical Inteligency egattibwe ku bisomesebwa mu ggwanga , kuba kati gwemugendo.