OKUDDUUKIRIRA ABATEESOBOLA: Ab'akakiiko k'eddembe ly'obuntu e Wakiso bataddewo bannamateeka
Akakiiko k'eddembe ly'obuntu e Wakiso kaleese bannamateeka abagenda okuyambako abantu abanyigiriziddwa nga tekalina buddukiro - bano baakutalaaga ebyalo eby’enjawulo okumanya abetaaga obuweereza bwabwe basobole okubayamba okufuna obwenkanya. Batubuulide nga bwebakizudde nti enkaayana ku ttaka bebaana baliwo nabo bagamba baakukisaako nnyo essira.