OKUDDABIRIZA MAKERERE: Minista Janet Museveni akutongoza
Enteekateeka z’okuzzaawo ekizimbe ekiraga ekifaananyi kya ssetendekero wa Makerere, ekimanyiddwa nga Ivory Tower oba Main building zigiddwako engalo.
Omulimu guno gutongozeddwa minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Jannet Kataha Museveni, nga okujjaguza emyaka 100 egya Makerere wekunaatukira nga kyonna kitemagana.