Obulamu: Enkozesa ya galubindi entuufu
Ku mulembe guno abantu bettanidde nnyo okwambala gaalubindi , abamu lwa kinyumu, songa abalala baba n’ebirwadde ku maaso. Kyoka abamu bazze beemulugunya nti bwebakozesa gaalubindi zino ate amaaso gaabwe gongera butalaba buluni. Mu kanyomero kaffe ak’obulamu - Jenifa Kabaale ayogedeko n’abasawo abamuku mu kujanjaba amaaso okutubuulira ku nsobi ezikolebwa abantu abakozesa galubindi zino ebibaviirako n’okwongera okulwaza amaaso gabwe.