OBUBI BUSUSSE: Agambibwa okubba pikiiki asimattuse okuttibwa
Abavuzi ba bodaboda e Mityana bakedde kuva mu mbeera nebakkakana ku muvubuka ategeerekeseeko erya Jose nebamuligita emiggo n’okumukuba amayinza nga bamulumiriza okubba pikipiki ya munaabwe. Ono poliisi yemutaasizza. Abatuuze bagamba nti obubbi bwa pikipiki bususse mu kitundu kyabwe.