Nakibinge akubirizza akakiiko k'eby'okulonda okwolesa amazima n'obwenkanya
Omulangira Kasimu Nakibinge asabye ab’akakiiko k’eby’okulonda mu ggwanga okuba akamazima n’obwenkanya okulangirira ebituufu ebinaaba bivudde mu kulonda okusobola okumalawo obunkenke mu ggwanga.
Okwogera bino abadde mu kusabira omugenzi Sheik Nooh Muzaata Batte gyasabidde ab’oluganda lw’omugenzi okugonjoola obutakaanya bwebalina ku by’obugagga nga beeyambisa abakulembeze b’ediini nga babalambika nga bayita mu Sharia.