Muve mu wofiisi mulime: Katikkiro awadde abayivu amagezi
Mu kaweefube w'okutumbula ekirime ky’emmwanyi, Katikkiro Charles Peter Mayiga alambudde abalimi b’emmwanyi mu ssaza lye Kabula mu disitulikiti ye Lyantonde.
Mayiga asinzidde eno gyakubirizza n’akubiriza abantu okukola ennyo okulaba nga balwanyisa obwavu - era akubiriza n’abayivu obutalowooleza mu wofiisi zokka kuba mukulima mulimu ensimbi.