Musajja mukulu aswadde: Abadde asera obudde ne bumukeerako
Abatuuze ku kyalo Bunakabugo mu muluka gw’e Nabirumba e Kamuli bakeeredde mu byewuunyo bwebasanze omusajja omukulu nga ali bute. Kigambibwa nti ono musezi nga obudde bwamukeddeko n’alemererwa okudda ewuwe. Abatuuze ku kitundu kino bamumanyi era bayise banaabwe nebamuzaayo ewuwe wakati mu kiswala okwekitalo.