Miriam Kayima yetaaga obukadde 25 okulongoosebwa ( 0753004978)
E Bamba - Nangabo mu Kasangati gyetusanze Mariam Kayima ali mukusoberwa oluvanyuma lw’okusabwa obukadde obuli eyo mu 25 asobole okulongoosebwa omutima. Ekyenjawulo ono kyalina nti okulongoosebwa kwakukolebwa wano mu ggwanga - omuwala ono amaze abbanga nga ayita mu buzibu buno kyokka balwawo okukizuula nti alina obuzibu ku mutima. Kati asaba balabi ba Spark Tv okumuyamba mu mbeera eno.