Maziga mu palamenti: Ensonga za Kiteezi zibakaabizza
Ababaka ba Palamenti olwaleero kata amaziga gabagwe mu kiwanga bwebadde banyonnyola engeri abantu b’ekiteezi gyebaafuddemu olw’akasasiro okubabuutikira.Okusinziira ku mubaka w’e kitundu kino Muwada Nkunyinji, abantu abasinga baafudde lw’abugayaavu bwa gavumenti butaba na nkola nnung’amu esobola okutaasa abantu ababa bagudde mu buzibu nga buno.Muwada agamba weyatuukira mu kifo kino abantu bangi baali balekaanira wagulu mu kasasiro okubataasa kyokka olw’okubulwa obuyambi bagenda basirika mpola mpola.