Kyagulanyi awakanyizza ekya NUP okubba akalulu ka 2021
Akulira ekibiina ki National Unity Platform awandiikidde omukulembeze we ggwaga kaguta museveni nga amwanukule ku bye yayogedde gye buvuddeko nti ekibiina ki NUP kyetaba mu kubba akalulu mu mwaka 2021.
Ono ayagala omukulembeze we ggwanga yejjeko ebitiibwa by’obwa pulezidenti olwo alyoke amuvunaane mu mbuga z’amateeka ku mivuyo egyali mu kulonda kwa 2021.
Ono azeemu okulabula bannayuganda nga bwewaliwo olukwe lwokukyusa amateea gokulonda, palamenti yeeba eronda omukulembeze we ggwanga.