KITALO: Poliisi ezudde omulambo gw'eyafiridde mu nnyanja e Ntebe
Poliisi Entebbe eriko omulambo gwenyuludde mu Nyanja ku mwalo gw’e Kitubulu - Kigambibwa nti ono yali agenze kwesanyusaamu ku lunaku lwa ssekukkulu. Omugenzi ategerekese nga ye Darausi Mugisha nga mutuuze mu katabi town Council e Ntebe. Wadde nga eb’eby’okwerinda baagana ebijjaguzo byonna mu Ntebe naye ebifo ebisinga ebisanyukirwamu ntebe kumpi byona byagguddwa ku ssekukkulu ate nga abakuuma ddembe benyini bebabikuuma.