KITALO: Omu afiridde mu kabenje e Kasana-Luweero
Omuntu omu afiiriddewo mbulaga n’omulala nagendera ku bisago ebyamaanyi motoka ekika kya Fuso bw’eyingiridde edduuka e Kasana mu tawuni kanso y’e Luweero. Akabenje kano kaabaddewo ku ssaawa ng’emu n’ekitundu ez’akawungeezi k’eggulo emabega w’ekisaawe ky’esomero lya Luweero Boys Primary School. Kigambibwa nti omugoba wa Fuso y’abadde muyiga kwekumulemerera n’eyingirira edduuka.