Katikkiro akalaatidde abaami ba Kabaka abagya ku bwesimbu
Kattikiro wa buganda Charles Peter Mayiga, akubiriza abaami b’amasaza n’abamyuka baabwe abaakalondebwa, okukola n’amanyi,batuukirize obuvunanyizibwa kabaka bweyabakwasizza. Abasabye obutasuuka muguluka emiramwa, n’enembika ezibaweebwa mu buweereza bwaabwe. Bano babadde munsisinkano eyabetegekeddwa Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu,okubalambika n’okubategeka mu ngeri gye balina okutambuzaamu emirimu gyabwe.