Essomero li ST. Bernard SS Mannya: Abayizi abavunaanibwa okulyokya bakyattunka
Omulamuzi wa Kkooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba alagidde essomero li St. Bernards SS Mannya saako n'ekitongole ki UNEB okuleeta ebyava mu bigezo bya Siniya ey'okuna eby'omuyizi Henry Taremwa okukakasa emyaka gy’emituufu weyakwatibwa.
Nga 12 November 2018, essomero lya St. Bernards SS Mannya mu disitulikiti y’e Rakai lyagwamu ekikangabwa oluvannyuma lw'abayizi ba Siniya ey’okusatu okigyiira mu kisulo nga kino kyava ku muntu ataategeerekeka okuggalira abayizi bano munda ekisulo n’akikumako omuliro okukakkana nga abayizi 10 bafudde n'abalala 30 nebagendera ku bisago.