Enkaayana ku ttaka; omuzzukulu abadde yaliwamba
Omukulu w’ekika kya Ababbopi mu Busoga ayitiddwa okugonjoola enkaayana ezibadde ku ttaka lyeyali mukulu wabwe erisangibwa e Nakaseeta mu Kayunga. Omuzzukulu ayabbulwa mu eyali nannyini ttaka lino abadde alyefunzizza n’aligobako n’abaana b’omugenzi. Ono asazeewo ettaka lino likwasibwe abaana b’omugenzi 11 era kyakoze.