ENKAAYANA KU TTAKA E SSEMBABULE: KKooti egobye okusaba kwa Buganda land board
Kooti enkulu e Masaka egobye okusaba kw’ekitongole ki Buganda Land Board kwebateekayo nga baagala abesenza ku ttaka ly’e Mijwala e Ssembabule bayimirizibwe okubaako kyebakolerako kyonna.
Mu bano kuliko Minisita omubeezi ow’ebyobulamu Hajjat Anifa Kawooya, Ssentebe wa district y’e Sembabule Dr. Elly Muhumuza, n’abalala nga bano bona Buganda Land board egamba beesenza ku ttaka lyayo mu bukyamu.