Embeera esiibye ya bunkenke mu bifo awabadde walina okutuuzibwa ttabamiruka w’ekibiina ki FDC
Embeera esiibye ya bunkenke mu bifo awabadde walina okutuuzibwa ttabamiruka w’ekibiina ki FDC - abamu ku bannakibiina gwe babade bawakanya. Poliisi ekedde kweyiwa Busaabala ku Nature’s Green Beach Resort olukung’aana gyerubadde lulina okutuula, kko ne ku luguudo Katonga okukugira olusirika luno lwebagamba nti lubadde lwa bumenyi bwa mateeka Kyoka wabaddewo akavuyo ng’abavubuka abagambibwa okubeera ab’ekiwayi ky’e Najjanankumbi bwebalumbye okugumbulula olukung’aana luno.