EKIKWEKWETO KYA POLIISI KU BIDDUKA : Mmotoka ezibanjibwa zitandise okukwatibwa
Poliisi y’ebiduka enkya ya leero ekedde kufuuza mmotoka ezirina engasi ey’okumenya amateeka g’ebiduka, nga eby’okusasula babivaako.
Ekikwekweto kino okusinga kibadde mu kampala n’emiriraano emmotoka eziwerako ziboyedwa, bannyinizo ne balagirwa okusasula engassi eno mu buliwo.
Poliisi etubuulide nti leero ebadde ntandikwa, buli alina engasi gyatannasasula wakukwatibwa.